
Obwakabaka bwa Buganda bwongedde okuwa amagezi eri abantu bonna naddala abavubuka abalinawo ku ttaka webalimira okulinyweeza nga balimirako ebintu ebiwangaazi mu kifo ky’Okulisalamu poloti balitunde Obulere.
Ezimu ku nteekateeka ezikoleddwa okuyambako abantu okuteeka kino mu nkola kwekubakubiriza okusimba emmwanyi mu nkola eyatuumibwa Emmwaanyi Terimba.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ng’aweza emyaka 11 okuva Ssaabasajja lweyamukwasa Ddamula mu 2013, zezimu ku nteekateeka zeyenyumirizaamu, zagamba nti zitandikidde ddala okukyusa obulamu bw’abantu.
Mu mwaka gwa 2017 lweyatongoza Emmwaanyi Terimba, era abantu abaafaayo okutandika nayo ebyenfuna byabwe byongedde okulinnya.
Azze akubiriza abavubuka bave mu kukuba olwali ku buli nsonga egwawo, wabula banyweeze ettaka lyebalina, oba okulyeyazika n’okulipangisa ekiseera ekigere bongere okusimba Emwaanyi kuba zezigenda okubatuusa mu Bukadde nga balinawo ku nsimbi.
Mu ngeri yeemu Obwakabaka busobodde okuteekawo Emmerezo z’Emmwaanyi enteketeeke obulungi, ezigenda okuyambako abalimi okufuna endokwa ez’Embala.
Abalimi b’emmwaanyi abaasooka okufuna endokwa z’emmwaanyi okuva mu nteekateeka y’Obwakabaka eya Mmwaanyi Terimba mu 2017, baatandika okufuna amakungula agasooka mu mwaka 2019.

Amakungula bwegeeyongera okuva mu 2020, essira Katikkiro yalissa kukunnyikiza ensonga y’okukuuma Omutindo, era naasaba abalimi nti Emmwaanyi ezengedde nga mmyufu bulungi zebaba banoga zokka eza kiragala bazeesonyiwe.
Werutuukidde olwa leero nga Emmwaanyi ezirimiddwa wansi wa Mwaanyi Terimba zikwaasa Ensaalwa abo abaalagajjala nebatasimba, ekiwalirizza Obwakabaka okweekubira enduulu eri abakwaasisa amateeka okukangavvula bonna abasangibwa nga beenyigidde mu bubbi bw’Emmwaanyi.
Kaawa ow’omutindo ava mu mmwanyi zino okuli Kaawa Mpologoma ne CBS Pewosa kaawa bye bimu ku bika ebivudde mu mmwanyi Terimba.

Mu kiseera kino kampuni y’Obwakabaka eya Mmwaanyi Terimba yatandika okugula emmwanyi ez’omutindo okuva ku balimi, era nezitunda mu mawanga g’ebweru eky’ongedde okuwa essuubi nti zakwongera ku nsimbi Obwakabaka bwa Buganda bweziyinziza, ate ne ggwanga lyonna Uganda okutwalira awamu.

Emmwanyi zino zitundibwa mu Russia ne Dubai mu United Arab Emirates era abaayo baatandika dda okuwoomerwa ka kaawa akava mu mmwanyi za kuno n’okukolamu ebintu eby’omugaso nkumu, nga zitwalibwayo kkampuni yeemu eya Mwanyi Terimba Limited.
Olugendo lw’Entekateeka ya Mwaanyi Terimba Katikkiro alutambudde ne ministry z’Ebyobulimi ,Obulunzi, Obuvubi n’Obwegassi ekulemberwa Owek Hajji Hamis Kakomo, ekitongole ki Uganda coffee Development Authority , BUCADEF ekitongolee kya ssabasajja eky’Ebyobulimi, ekyabangula abalimisa 18 nekibateeka mu masaza ga Beene gonna okulondoola ebyobulimi.#
Bikungaanyiziddwa: Kato Denis