Government ereese enteekateeka y’abayizi bonna abali mu S.6 okwetoloola eggwanga lyonna okutwalibwa ku ttendekero ly’obukulembeze erya National Leadership Institute e Kyankwanzi okutendekebwanga mu ngeri y’okwagala eggwanga lyabwe .
Enteekateeka eno esuubirwa okutandika omwaka guno 2024.

Hellen Seku, Commissioner avunaanyizibwa ku kukubangula abakulembeze agamba nti abayizi bakutendekebwanga okumala ebbanga lya myezi esatu.

Commissioner Hellen Seku agambye nti bali mu nteekateeka y’okuwandiikira Minister w’ebyenjigiriza n’emizannyo ,saako abakulembeze mu District ezenjawulo okutuukiriza enteekateeka eno.

Seku ategezeza nti bakusomesa abiyizi ebintu by’enkulaakulana Saako okubawa obukugu bwebasobola okukozesa okufuna ensimbi, okulwanyisa enguzi n’okukuuma obutonde bw’ensi.
Seku abadde ku ssomero lya Gayaza High school ku mukolo abayizi abamaze ennaku taano nga batendekebwa n’abakulembeeze baabwe nga booloose byebakola.
Alabudde abayizi abali mu luwummula okubeera abegendereeza mu bitundu gyebagenze ,obutenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka.
Omukulu w’essomero lya Gayaza High School Robinah Kizito agambye nti okutendeka abayizi mu nteekateeka eno kwetaagisa ensimbi enkumu nasaba abakulu okuyambako asomero.
Bisakiddwa: Betty Zziwa