Ssabakunzi w’ekibiina kya NRM mu ggwanga Rosemary Nansubuga Sseninde agambye nti enkola eyakamyufu k’ekibiina yeemu kubivuddeko okweyuzaayuza mubamemba ba NRM, nekivaako obukyaayi obw’olubeerera mubawagizi.
Bino Rosemary Sseninde abyoogeredde mukisaawe kyokukitebe ky’eggombolola ye Kibibi mu district ye Butambala, ku mukolo ogugendereddwamu okunyweeza obuwagizi bwekibiina wamu nokuzza emitima gyabamemba.
Omukolo ogwo gutegekeddwa ba memba bekibiina kyobwanakyeewa ki Butambala NRM team ekikulirwa Haji Kakonge Musa.
Ssabakunzi Sseninde agambye nti olwokuba mukulonda kwakamyuufu buli muntu eyesimbawo aba ayagala kuyitamu, abo abatawangudde basitula olutalo olwamaanyi ate nebatandika nokuvumirira ekibiina.
Rose Sseninde, era anenyezza abamu kubakulembeze ba NRM aboogerera mulwaatu eri abantu abalala nti tebafunye Mukibiina kya NRM, nagamba nti ebigambo bwebityo binafuya ekibiina sso ngaate government ya NRM ekoze ogwaayo abantu nebateerawo amakubo mwebayinza okugaggawalira gamba nga ssente za parish Development model nenteekateeka endala.
Banna NRM abakulembeddwamu omukwanaganya wemirimu gya office ya Ssentebe wa NRM mu ggwanga nga yatwaala district ye Gomba, Butambala ne Mpigi, Kaweesi Sulaiman baloopedde Ssabakunzi Sseninde enkwe ezisusse mu NRM nga banna Kibiina ate balwanyisa bannaabwe.
Kaweesi asabye Ssentebe wa NRM mu ggwanga President Yoweri Museveni nti alekeraawo okuteeka ensimbi ennyingi mubakulu ababeera mu office mu Kampala ngaate abantu abasinga okuteekamu amaanyi bali wansi mubyaalo.
RDC we Butambala Haji Lubwaama Sulaiman Bukya agambye nti mubbanga lyamyaaka 3 gyeyakakolera e Butambala, gavumen ya NRM etadde obuwumbi bw’ensimbi mu kitundu ekyo nti kyokka aboogera kubintu government byeekoze batono ddala.
Ssentebe wa Butambala NRM team Haji Musa Kakonge nga yategese omukolo ogwo agambye nti ekibiina kye ekyo kikola bwanakyeewa omuli okuyambako abatuuze okubasimira enzizi, okukunga abavubuka okwongera okujjumbira ekibiina nti era ensisinkano ezo zikolebwa mubuli ggombolola ye Butambala, nagattako nti ekibulamu Mukibiina kyaabwe kyakunyonnyola bantu government byeekoze, ate nabavubuka okweggyamu endowooza nti balina kuweebwa buli kimu.#
Bisakiddwa: Sserugo Patrick