Kooti ewozesa abantu abavunaanibwa emisango gy’obwakalintalo egobye okusaba kw’Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere eyali asabye addizibwe emmundu ye ekika kya pistol, n’ebintu ebirala oluvannyuma lw’okuggyibwako emisango egyali gimuvunaanibwa.
Omulamuzi Alice Komuhangi Khauka agambye nti emmundu y’Omusinga teyinza kumuddizibwa, nti kubanga ekyakola ng’ekizibiti mu misango egivunaanibwa eyali Katikkiro we Thembo Kitsumbire eyagaana okukkiriza okuweebwa ekisonyiwo era emisango gyonna yagisigalako bwomu.
Omusinga ne basajja be abasaoba mu 200 baali baggulwako emisango okuli ogw’obutujju, okulya mu nsi olukwe, obutemu, obunyazi, okwonoona ebintu mu bugenderevu n’ebirala.
Mu 2016 abajaasi b’eggye ly’eggwanga erya UPDF baalumba olubiri lw’Omusinga olwe Buhikira mu Kasese Municipality abantu be abawera baakwatibwa nebasibwa n’okuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka, olubiri lwakumwako omuliro n’abalala abasoba mu 100 nebattibwa.
Oluvannyuma lw’emyaka 7 okuyitawo ng’omusinga ne basajja be bawerennemba n’emisango, government yasalawo okubaggyako emisango oluvannyuma lw’okusaba ekisonyiwo, wabula Katikkiro we Thembo Kitsumbire yagaana ng’agamba nti emisango egyabassibwako gyali mijweteke.
Omusinga abadde ayagala ebintu bye byonna ebyamugyibwako amagye lwegaalumba olubiri bimuddizibwe, okuli nti Bbaasitoola ye president Museven gyeyamuwa okugyekuumisa, kwaliko n’amasasi magazine 2, emmotoka ze okuli Toyota Land cruiser eriko Number Plate Omusinga 1,ne Toyota Noah van; Pick-up leadcar ford eriko Number Plate Royal Guard.
Wabula omuwaabi wa government Thomas Jatiko agambye nti ebintu bini bikyetaagibwa okukozesebwa ng’ebizibiti, ate era nti bintu bya government ebitayinza kumala gamuddira.
Wano Omulamuzi Alice Komuhangi Khauka wasinzidde okugoba okusaba kw’omusinga.
Bisakiddwa: Betty Zziwa