Ekibiina ekigatta bannekolera gyange ekya Private Sector Foundation of Uganda, (PSFU), kyagala ekitongole ky’emisolo mu ggwanga kiddemu okwekenneenya n’okukyusa enkola endigito ezissibwawo mu kusasula emisolo gyebagamba nti ginyigiriza mnyo bannamakolero, nga nabamu gibagobye mu mirimu.
Alipoota eyakolebwa aba PSFU n’aba Pricewater House Coopers, (PwC) mu makolero agenjawulo, era ze nti singa enkola zino tezikyusibwa zakwongera okukosa bannamakolero, ekiyinza okuviirako agamu okuggalawo mu Uganda negagenda mu mawanga amalala n’okufiirwa emirimu.
Nga 1 November mu mwaka 2019, government yatongoza enkola eyokuwooza omusolo mu nkola endigito eyatuumibwa Digital Tax System, (DTS), okukunganyizaako omusolo ogumanyiddwa nga Excise Duty, era enkola eno, ekozesebwa nnyo ebitongole okuli URA ne UNBS ku byamaguzi eby’enjawulo.
Government okuleeta enkola z’okusolooza emisolo mu nkola endigito yagendererwamu okutaasa emisolo ejibulankanyizibwa, okulwanyisa ebyamaguzi ebitatuukanye namutindo ku katale, okuteekawo obwenkanya mu butale obw’enjawulo n’okufuna ebibalo ebituufu ku byamaguzi ebifulumizibwa nokuyingizibwa mu ggwanga.
Mu kusoma alipoota ya PSFU ku mukolo ogubadde ku Serena Hotel mu Kampala, Stephen Asiimwe ssenkulu wa PSFU me Julie Nagginda, okuva mu Pricewater House Coopers, (PwC), bagamba nti government erina okuddamu okwetegereza enkozesa endigito zino kuba ezimu zinyigiriza ab’amakolero bwogeraageranya ebyenfuna bwebitambula n’entambuza zemirimu ezikyusibwakyusibwa n’ekigendererwa eky’okutaasa n’okuyimirizaawo amakolero.
Bagamba nti ensimbi zebasaasaanya mu kukola ebyamaguzi mu Uganda ziri waggulu nnyo, nga kwotadde n’emisolo emingi ate nagyo egibeetaagisa okufulumya sente endala nnyingi nga basasula emisolo egyo.
Bawadde eky’okulabirako, nti buli lwebasasula omusolo gwa excise duty ogw’ebitundu 16%, era balina sente endala zbasaasaanya eziwera ebitundu bye bimu ebya 16%, okutuukiriza enkola z’okusasula omusolo ogwo.
Andrew Kironzo, ssenkulu wa kampuni ensogozi yoomwenge eya Uganda Breweries LtD, kulwabanamakolero agambye nti enkola endigito eno ebaviiriddeko okusaasanya ensimbi nnyingi okujifuna n’okugikozesa, nti nga basaasaanya obuwumbi bwa shs 20 n’emitwalo 80 buli mwaka okujikozesa.
Bannamakolero webaviiriddeyo nga n’abasuubuzi mu ggwanga bakyakaaba olw’enkola ya EFRIS ( electronic Fiscal Receipting and Invoicing Solution) bagyekokkola nga ebakosezza nnyo era eyabaviirako n’okwekalakaasa nebaggala amaduuka gabwe.
Gyebyagweredde nga basisinkanye president w’eggwanga Gen.Yoweri Kaguta Museven, wabula bagamba nti ensisinkano eno teyavuddemu kalungi konna.
Bisakiddwa: Ddungu Davis