Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kironze ekisaawe kya Muteesa II Stadium e Wankulukuku okutegeka omupiira ogwakamalirizo ogw’empaka za Stanbic Uganda Cup season ya 2023/2024.
Club ya NEC ne Kitara nga zonna za Uganda Premier League zezatuuse ku luzannya olwakamalirizo olw’empaka zino.
Omupiira ogwakamalirizo gwakuzannyibwa nga 25 May,2024 mu kisaawe e Wankulukuku.
Club ya NEC okutuuka ku final yawanduddemu club ya BUL ku mugatte gwa goolo 3-1, ate Kitara yawanduddemu club ya Pajule Lions ku goolo 4-1.
Club zombiriri zatuuse ku final y’empaka zino omulundi gwazo ogwasookedde ddala.
Club ya KCCA ne Express mukwano gwabangi ze zikyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi 10 buli emu, ate Villa Jogo Ssalongo yakawangula empaka zino emirundi 9.
Omuwanguzi w’empaka zino yakiikirira Uganda mu mpaka za Africa eza CAF Confederations Cup.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe