Abasuubuzi okuva mu bitundu okuli Wakiso, Kampala , Mbale , Mukono , Jinja batandise okutuuka mu Kisaawe e Kololo gyebagenze okusisinkana President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa okumutottolera ebizibu enkumu byebayitamu omuli n’emisolo gyebagamba nti gibayinze.
Amaduuka naddala agasuubuza eby’amaguzi mu Kampala gaggaddwa, era n’emirimu gyakimpoowooze.
Abasuubuzi bemulugunyiza omukulembeeze we ggwanga naddala ku nkola Electronic Fiscal Receipting and Invoicing Solution – EFRIS eyaleetebwa ekitongole ekya URA eyitwamu okusolooza omusolo, nga bagamba nti eyolekede okubagoba mu busuubuzi.
Abasuubuzi baamala wiiki namba nga bekalakaasa mu mirembe era nebaggala amaduuka, okutuusa president Museven bweyabasuubiza okubasisinkana olwa leero nga 07 May,2024.
Ssentebe we Kibiina ekitaba abasubuzi mu Kampala ki KACITA Thaddeus Musoke Nagenda agamba nti balina esuubi mu kusisinkana President w’eggwanga era asuubira nti yakuvaamu ebibala ebinaabagasa ng’abasuubuzi bonna.#