Omubaka wa Ssaabasajja mu Ssaza UK ne Ireland Owek. Ssaalongo Geoffrey Kibuuka atuuzizza olukiiko lw’ebbendobendo lya South ne West England okutema empenda mu nteekateeka z’obuweereza bwabwe n’okwanjula abaami b’emiruka omusanvu egikola ebbendobendo eryo.
Guno gwe mulundi ogusookedde ddala okusala emiruka mu sssaza lya UK ne Ireland.
Omukolo gubadde ku Ainsley Town Hall Crystal Palace.
Ssaalongo Kibuuka akuutidde abaami abatuuziddwa okukolera awamu nga batuukiriza omulamwa gw’essaza ogw’obumu n’okwekulaakulanya.
Omukolo gwetabiddwako abagenyi omuli; Katikkiro w’Ekika ky’Empologoma Kisekka Ddungu Patrick, Dr. Godfrey Sekweyama Omumyuuka w’omubaka eyawummula, abakulu b’eddiini, abakungu n’abaami okuva mu mabendobendo gonna ag’essaza.#