Kabangali ya police ebadde egoberera munna FDC PATRICK AMURIAT OBOI efunye akabenje Bwebadde egezaako okuyisa emotoka ya Amuriat era abawerako balumiziddwa nebadusibwa mudwaliro nga biwala ttaka.
Akabenje Kano kagudde mukitundu ekiyitibwa Kyatega mu district ye Kyegegwa mukitoogo abasirikale 5 balumiziddwa nga kuno kubaddeko abamagye babiri nabapolice 3, wabula waliwo omukyala wamagye abadde kukabangali ayisiddwa bubi era adusiddwa mudwaliro nga bakwatiridde mukwatirire.
Wadde nga Amuriat obwedda atawanyizibwa ab’eby’okwerinda buli wadda kino tekimulobedde kwenyigira mukutaasa basirikale bano abafunye akabenje era y’omu kubabasitudde okubatwaala mudwaliro.
Kabangali ya police eno number UP 1302 okugwa etomedde emotoka ya electrol commission okutambulira abasirikale abakuuma Amuriat era omu kubasirikale abadde atudde kumotoka eno ayisiddwa bubi oluvanyuma lw’Okuva kumotoka waggulu naggwa.
Wabula bino nga tebinabaawo police esoose kulwanagana ne munna FDC ono mu town ye Kyegegwa nga temukiriza kwogera nabantu era emuteredde emisanvu mukubo nga teyagala ayite mu town wabula AMURIAT avudde mu motoka natambuza ebigere natuuka mu town ye Kyegegwa ekidiridde abadde teargas namasasi.
Wabaddewo akanyoolagano nga Amuriat alwaanagana n’ab’eby’okwerinda era DPC we Kyegegwa alabidwaako nga bimusobodde ng’akuba esimu ez’okumukumu.
AMURIAT yasoose kuganibwa kugula tooke mukatale akayitibwa Kantete mu district ye Kyegegwa era abasuubuzi mukatale kano bakedde kunaaba mukka gubalagala.
Munnakyaalo ono nga bweyeyita eyagaana okwambala engatto mubigere olwaleero wakutalaaga district 3 okuli Kyegegwa, Kamwenge ne Kyenjojo.