Omulamuzi w’eddaala erisooka owe Nansana Eriokot Joyce Esther alabudde abagenda okubala bannauganda obutagezaako kutyoboola oba okuzanyira mu byama by’abantu bebagenda okubala, nti kubanga ebirayiro byebakubye byolekedde okubasibya.
Omulamuzi Eriokot Joyce Esther abadde ku somero lya St Joseph Primary School Nansana ng’alayiza abantu abalondeddwa okuyambako ekitongole kya Uganda Bureau of Statistics mu kubala abantu mu Nansana Municipality.
Omumyuka wa Mayor wa Nansana Municipality, Omulongo Kato Paul Yiga asabye government yekeneenye bulungi ebinaava mu kubala abantu kuno okusalawo obuweereza obusaanidde mu bitundu ebyenjawulo naddala ebirimu abantu abangi.
Omumyuka wa Town Clerk mu Nansana municipality, Josephine Nabaggala Kafeero, akuutidde abalayidde abalina obuyisayisa obubu okubuleka ewaka, babeera bagumiikiriza ate bakuume ebyama by’abantu.
Okusinziira kwakulira okubala abantu mu Nansana municipality, Sam Miiro, abantu abatendekeddwa abagenda okubala abantu mu Nansana Municipality bali 1800.
Government yasaawo ennaku 10 ezigenda okubalibwamu abantu bonna mu ggwanga, okutandika enkya ku lw’okutaano nga 10 May okutuuka nga 19 May,2024.
Mu ngeri yeemu ekitongole ekivunanyizibwa ku bibalo mu ggwanga, ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS), kitegezezza nti kisomesezza abantu ekimala byonna ebikwata kukubala abantu, n’akubiriza abakulira eby’okulondoola ebifo ebyasindikiddwamu obuuma obugenda okukozesebwa obwa Digital Tablets okuzuula amangu singa mubeeramu akaliko ekikyamu katereezebwe bunnambiro.
Akulira ebyokubala abantu mu Buganda, Dr. James Muwonge abadde asisinkanyemu ebibiina by’obwannakyewa, abakulembeze baabagoba ba bakisi, ebibiina byabaliko obulemu, bannekolera gyange naabalala, ku imperial Royale Hotel mu Kampala, n’agamba nti bamativu nti enteekateeka egenda kutambula bulungi.
Mu nsisinkano eno Ruth Nalujja, akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku baliko obulemu ekya Spina Bifida and Hydrocephalus Association of Uganda, ne Florence Namaganda, akulira ekitongole ky’abaana abaliko obulemu ekya Mukisa Foundation Uganda, bawanjagidde ekitongole Kya UBOS okwongera okussa essira ku bantu abaliko obulemu nabo okubalibwa omuwendo gwabwe omutuufu gutegerekeke.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe