Eggye lya UPDF nga likolera wamu n’eggye ly’eggwanga lya Congo liriko eby’okulwanyisa ebiwerako byebazudde mu kikwekweto ekikoleddwa okumpi n’Olutindo oluli ku mugga Talia mu Democratic Republic of Congo.
Ebimu ku bizuuliddwa mulimu emizinga, Emmundu sseruwandula amasasi ,bbomu n’Amasasi agawerako, nga kiteeberezebwa bibadde bikozesebwa abayeekera b’Akabinja ka ADF
Omwogezi w’ekikwekweto ki Operation Shuja ekiyindira mu DRC eky’okuyigga abayeekera ba ADF Maj. Bilal Katamba era nga yaayogerera Eggye lyomunsozi, ategeezezza nti ebizuuliddwa byandiba nga bibadde bikozesebwa abayeekera abaakubwa gyebuvuddeko bwebaali beekukumye mu kiwonvu kye Mwalika.
Mungeri yeemu kizuuse nti mu bikwekweeto ebyaakolebwa nga 7 May, 2024, waliwo ateeberezebwa okubeera omuyekera wa ADF eyattiddwa mu kitundu kye Masizi mu ssaza lye Boga mu Democratic Republic of Congo, ng’ekikwekweto kino kyakulembeddwaamu Col Jackson Mayanja.
Bisakiddwa: Kato Denis