Omukubiriza w’olukiiko lw’abataka bajjajja abakulu b’obusolya; Omutaka Nnamwama Dr. Augustine Kizito Mutumba atongozza akazannyo k’okuvuganya mu bibuuzo by’okuwawula obwongo bw’abalungamya b’okumikolo n’ababawa emirimu akatuumiddwa “Atamukutte w’Abalungamya 2024”.
Ku mukolo oguyindidde mu Bulange e Mmengo, Omutaka Namwama mwakoledde n’omukolo gw’okusunsulamu abaneetaba mu kazannyo kano akanaabeeranga ku BBS Terefayina buli Lwa Sunday, wakati w’essaawa ttaano ne mukaaga ez’omuttuntu.
Abawanyi (abamegganyi) 20 bebasunsuddwa okwetaba mu luzannya lw’omwaka guno.
Omutaka Nnamwama akuutidde abalungamya okwongera okutambulira ku Nnambika eyayisibwa Abataka mu kulambika omukolo gw’okwanjula, kikuume ennono n’ekitiibwa ky’omukolo ogwo.
Jajja Namwama mu mbeera yeemu asabye abazadde nabo okussaayo omwoyo n’obuvunaanyizibwa mu nteekateeka y’emikolo, obuyinza baleme okubulekera abaana kubanga buli lwebabula mu nsonga y’enteekateeka kiwa abaana ebbeetu okukola byebaagala ate oluusi ebikontana n’ennono.
Ssente w’abalungamya b’okumikolo Ismael Kaggya agambye nti enteekateeka y’Atamukutte w’Abalungamya etandise yaakubangawo buli mwaka, n’ekigendererwa eky’okutereeza omukolo gw’okwanjula okuviira ddala ku balungamya n’abategesi b’emikolo.
Program eno yaakutandika ku Sunday nga 12 May,2024, n’Abawunyi 5 okuli; Kayondo Enock, Ssentamu Michael, Mubiru Grace Ronald ne Bulamba Joel.
Obwakabaka bwa Buganda bwasalawo okussa essira ku balungamya b’okumikolo okutereeza entegeka n’enkola y’emikolo naddala ogw’okwanjula ogubadde guttattaniddwa ennyo abantu, nga bakoleramu ebifeebya n’okuvvoola ekitiibwa n’ennono ya Buganda.
Mu nteekateeka ezino mulimu Ennambika y’abataka, okutegeka Ssemasomo okubangula abalungamya ne bakatumwa kaakano n’okutegeka Atamukutte.
Wateereddwawo ebirabo ebyamaanyi eri abawanguzi b’Atamukutte, okuli Piki Piki kapyata, Ente wamu ne TV gaggadde n’ebirabo ebirala bingi okuva mu bavujjirizi.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka