Omutendera gwa Kasambalyanda mu Program Entanda ya Buganda ku 88.8 CBS fm, abamegganyi Kisomose Ssegawa James afunye obugoba 27 ne Kayemba Walugembe eyafunye obugoba 24 basuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako, ate Ssennono John Baptist eyafunye obugoba 14, yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda nga 04.11.2023
1. Abaganda balina enkola ey’okupaatiika amannya ku bannaabwe, tuweeyo ebintu bibiri kwebasinziira okupaatiika amannya – Ku mize n’emirimu gyebakola
2. Owoomumbuga lyerimu ku mannya agayitibwa Katikkiro wa Buganda, tuwe ennono yaakyo – Butikkiro etunudde mu bwenyi ya Twekobe
3. Okusimba eggumba kisoko, kitegeeza ki? – Kutambuza bigere
4. Ani yawandiika ekitabo, Ebitontome ebiseeneekerevu? – Namaganda Alice
5. Mpa eky’okuyiga mu Lugero, Tunaagabanira mitala yaakuseera – Sikirungi kwesiga bantu, beefuula
6. Waliwo ekika ky’Abaganda ekirina essiga ekkazi, kika ki? – Ngo
7. Enswa bazizuuka, olwo ensonzi nebazikola ki? – Bazitoga
8. Mu byambalo ebyambalwa abakazi mulimu kyebayita Omutumba, Omutumba kye ki? – Ye Ssuuka gyebeesiba oba okwekubira
9. Abaganda beesigama ku ki okutuuma ebifo amannya? – Ku mirimu egikolebwa mu bifo, enkula y’ebitundu n’amannya g’abaami abatwala ebifo ebyo
10. Mu nnono z’abaganda, Kabaka bwasiima n’awummuza Katikkiro we, Ddamula aterekebwa wa? – Wa Nnaalinnya Lubuga we
11. Amakulu g’ekisoko, Okumala gga – Okukola omulimu ng’omuntu tagutaddeeko mwoyo
12. Ani yawandiika ekitabo, Mbayiwa? Waalabyeki Magoba
13. Amakulu g’olugero, Waggumbulizi kaaba nako, kaawa munywanyi we? – Okugabana n’abalala
14. Erinnya ly’essiga Ekkazi? – Essiga lya Nakyejwe
15. Ettooke bwebaliyunja, olwo embidde nebagikolaki? – Bagitema
16. Emmere Omuganda gyajja mu mbidde, eweebwa linnya ki? – Migomba
17. Embeera bbiri Abaganda zebasinziirako okutuuma abantu amannya – Ekika ky’omuntu n’enkula y’omwana
18. Omuzizo omukulu gumu ku Katikkiro n’Olubiri – Tasula mu lubiri
19. Okumala omuntu obwoya ku ntumbwe – Kutambuza muntu bbanga ddene ng’akyayagala takifuna
20. Omuwandiisi w’ekitabo Omulya mmere Kkoyi – Kizza Mukasa
21. Ekyokuyiga mu Lugero, Bwogenda ebulya nkoko toleka kambe – Okwetegekera embeera obudde bwonna
22. Mu bika by’abaganda mulimu ekirina essiga ekkazi, lisangibwa ku kyalo ki? – Mabanda Butambala
23. Kasooli bwebamunoga, essubi likolwa litya? – Lijjirwa
24. Amagi g’ensekere nga mangi nnyo nga gali ku mutwe gaweebwa linnya ki? – Omuwempe
25. Emizizo ebiri egidda ku kitooke kya gonja – Endagala zaakyo tezisaaniika n’ebyayi byakwo tebisiba ttu lyonna
26. Embuzi gyebayita Nnyamatekaawa, eba efaanana etya? – Embuzi enkapa ennyo
27. Okukubagana empawa kitegeeza ki? – Obutakwatagana mu byemwogera
28. Ebbala eggazi erigenze mu lugoye, Omuganda yaliwa linnya ki? – Ekibambya
29. Olugero: Ayagala omulongo – ayagala n’olukoba
30. Ekigambo ku Mazzi mu lulimi oludda ku bukomazi kitegeeza ki? – Oluuyi lw’olubugo olutali lwakungulu
31. Omulungi tabulako kamogo, tuwe ekitonde ekijjayo obulungi embeera eyo. – Embwa
32. Enjuki esooka okugenda webasogolera ekwatibwa, olwo nebagikola ki? – Bagisiba ku kugulu kw’omusogozi
33. Eddoboozi eriva mu mugogo nga bayunja ettooke – Nnabangogoma
34. Okwekansa kisoko, kitegeeza ki? – Omuntu okukola ekintu ng’alaga obumanyi
35. Emyugu egikula obulungi giba n’empambo, empambo kye ki? – Ensigo z’emyungu
36. Empaka ennemeremu – Zikubya mukyawe
37. Embidde enkalu ziweebwa linnya ki? – Mutere
38. Ebitundu bibiri eby’omubiri gw’omuntu ebikozesebwa okukongoola omuntu – Omumwa n’engalo
39. Waliwo ebinywebwa lwebiyitibwa ebijuguli, byebiriwa? – Ebisiike
40. Nnakavundira kitegeeza ki? – Kasasiro atuumiddwa awamu n’avunda ate n’omubisi oguva mu mbidde ezengedde ennyo
41. Omutaka w’e Ssenyi kisoko, Omutaka w’e Ssenyi yaani? – Mugogo
42. Olugero: Ssiimuwuune – Y’afa n’omwami
43. Okuggyawo ekibano, mukolo gwabuwangwa, tuweeyo engeri emu ey’okuggyawo ekibano – Kuggyawo gwoto
44. Okwetyabira akalimu obuwuka kisoko, kaba ka ki ako – Kaku
45. Entengereze kye ki? – Embeera y’omuntu otya okugwa
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K