
Fred Enanga omwogezi wa police mu ggwanga asinzidde ku media center mu Kampala naagamba nti ebitokngole ebikuuma ddembe nga biyita mu bambega baabyo, baakizudde nti abo abeenyigira mu kwekalakaasa kuno ,amafuta baali bagagulira mu budomolera, obukyupa nebirala, ebitongole ebikuuma kwekusalawo okuyimiriza mbagirawo okutunda nokugulira amafuta mu budomola namakyupa.
Okusinziira ku Fred Enanga ,era abo abalina ebidduka amafuta negabagwaako mu makubo nga beetaagisa okukozesa obuddomola okufuna amafuta, ebitongole ebikuuma ddembe bikwatagaanye nebannanyini masundiro gamafuta okulaba nti balondoola abo abagaguze gyebagatwaala.
Mu mbeera yeemu fred Enanga agambye nti ebitongole ebikuuma Ddembe nga biyita mu bambega baabyo bali mu kulondoola entambuza yemippiira emikadde kubanga gyegyaakozesebwa abekalakaasi okukuma omuliro mu kkubo.
Enanga agambye nti waliwo nempiira emippya era egyaakozesebwa mu kwekalakaasa, ebitongole ebikuuma Ddembe biri mu kunoonyereza gyegyaava naabo abasaamu ensimbi.
Werutukudde olwaleero abantu 54 bebakakasiddwa nti battibwa nga kuno 20 battibwa masasi agaawaba ,32 baali bekalakaasi songa 2 baatomerwa bidduka mu kiseera ekyo.
Emisango 263 police gyeyakakungaanya okuva mu ngyega eyaliwo ,166 gyegyakatwalibwa mu kkooti songa 93 giri mu kunonyerezaako.
Police egamba nti abantu 1014 bebakakwatibwa kubyeekusa nokwekalakaasa kuno ,843 basimbiddwa mu kkooti 28 kubano nebasalirwa ebibonerezo byokukola bulungi bwansi songa abantu 20 bbo baalabulwa obutaddamu okwenyigira mu bikolwa bino
Fred Enanga omwogezi wa police agambye nti abantu 699 bebali mu makomera ,113 baayimbulwa ku kakalu ka police songa 93 court yabayimbula ku kakalu kaayo
Fred Enanga ebitongole ebikuuma Ddembe bikyanoonya nabalala.