Minister omubeezi ow'ensonga z'e Karamoja ng'era ye mubaka omukyala owa District ye Buduuda Agnes Nanduttu akomezebwawo leero mu kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo, okuwulira okusaba kwe okw'okweyimirirwa ku misango...
Speaker wa parliament Anitah Annet Among agobye omumyuka wa Ssabawolereza wa government Jackson Kafuuzi obutaddamu kuwabula parliament ku bbago oba etteeka lyonna erireetebwa parliament, mu kiseera kyonna kyanaabeera nga yakyali...
Ekitebe ky'omukago gwa East Africa ki East African Community kirangiridde nti eggye ly'omukago lyakezza ebitundu 11 mu bendobendo ly'obuvanjubwa bwa Democratic Republic of Congo, oluvanyuma lw'rbibinja by'abayeekera obubyamuka mu mirembe...
NZE NGA BWENDABA: Kano katundu akaweerezebwa mu mawulire ga CBS 88.8 ku ssaawa ssatu buli monday ne Friday. Waliwo Omubaka wa Parliament owa district ye Buvuma Susan Nakaziba Mugabi akyanyiga...
Ssabapolice wa Uganda Martin Okoth Ocholla alagidde abaserikale 11 abeenyigira mu kukuba omubaka omukyala akiikirira Buvuma mu parliament Susan Nakaziba Mugabi bayimirizibwe ku mirimu, nga bwebanonyerezebwako olw'enneeyisa etali ya buntu....
Kooti enkulu egobye omusago gwa munna NUP Fred Nyanzi Ssentamu gwe yawawabira Muhammed Nsereko nga amulanga okutiisatiisa abalonzi be n'okukyusakyusa ebyava mu kulonda ku kifo ky'omubaka wa Kampala Central. Ensala...
Kkooti enkulu mu Kampala esuubirwa leero okuwa ensala mu misango gy'ebyokulonda ebiri okuli ogwaloopwa munnakibiina Kya NUP Fred Nyanzi Sentamu mwawakanyiza obuwanguzi bwa Mohammed Nsereko ng'omubaka wa Kampala Central....
Minister omubeezi ow'ebyensimbi n'okuteekerateekera eggwanga era omubaka wa Ntenjeru North Amos Lugoloobi ayimbudddwa ku kakalu ka kooti, ku misango gy'okwezibika amabaati agaali galina okuweebwa abakalamoja. Kooti ewozesa abakenuzi n'abalyake emuyimbudde...
Minister omubeezi ow'ensonga ze Kalamoja Agnes Nandutu kyadaaki yetutte ku kitebe kya police e Kibuli, yennyonyoleko ku bigambibwa nti yoomu ku ba minister abekomya amaabati agaalina okuweebwa abantu be Kalamoja...