Lord Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago yekubidde enduulu eri parliament ng’agamba nti minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye asusse okumusindikira obubaka obumutiIsatiIsa ng’amulabula okwesonyiwa ensonga z’enguudo za Kampala nti bwaba akyayagala okubeera omuloodi wa Kampala.
Lord maoyor asabye parliament emuyambe eyingire mu nsonga zabwe ng’omusaayi tegunayiika.
Lukwago abadde alabiseeko mu kakiiko ka Parliament akebyobuzimbi aka physical infrastructure n’agamba nti minister yalinga amuweereza obubaka obulabula nti nga yali abiyita byakusaaga , ng’era amanyi ensonga banazimala kissajja kikulu.
Annyonyodde nti naye okuva lweyayingira mu nsonga z’okukola enguudo zomu Kampala mu ngeri ya gadibengalye, Minister Kyofatogabye yamuggurirako ddala olutalo era nti natuuka n’okumusindikira obubaka ku ssimu obumutiisatiisa okuva mu nsonga z’okukola enguudo.
Wabula minister Kyofatogabye ebyogeddwa Lukwago nti amutiisatiisa okumutusaako obulabe abisambazze, n’agamba nti ye obubaka bweyamuweereza bwali bumusaba kwemalra ku mirimu gye nga lordmayor wa Kampala, ne minister amuleke akole egigye egyamukwasibwa.
Minister era agambye nti Lord mayor yamusaba alekere awo okuyita abakozi ba KCCA ababbi, nti kubanga naye nga lord mayor sente ezimuweebwa nti tasobola kuziweerako mbalirira.
Mu ngeri yeemu Omuloodi ategezezza akakiiko, nti enguudo zomu Kampala zaasukka okubinikibwako ensimbi ennyingi, so nga ssi zezibeera zisaanidde okukolebwako.
Anokoddeyo enguudo okuli olwa Kabuusu – Bunamwaya -Lweza oluweza kilomita 8 nga lwamalawo obuwumbi bwa shs 93 n’obukadde 700.\
Oluguudo lwa Lukuli – Nanganda – Munyonyo oluwera kilomita 7 lwamalawo OBUWUMBI 70, kyokka nga lufunda.
Omwala gwa Lubigi oguliko km 2.5 gwamalawo obuwumbi bwa shs 62, n’enguudo bwezityo, kyagamba nti ssente nnyingi nnyo nga tebasobola kunnyonnyola byezaakola.
Asabye government esooke enoonyereze ku nsimbi zonna ezizze ziweebwayo okukola enguudo mu Kampala, omuli ezassibwa mu project ya KIIDP ne KCRRP.