Sipiika wa Parliament Annet Anita Among alagidde akakiiko ka parliament akakola ku nsonga zóbwa president, okukola okunoonyereza nookuleeta alipoota ku nneyisa yábabaka ba president mu bitundu (RDCs).
Byebalina okunoonyerezzaako kwekuli ba RDC abalemesa ababaka ba parliamnet okukuba enkungaana némikolo emirala mu bitundu byebakiikirira.
Akakiiko kano kakulirwa omubaka wa parliament owa Adjuman Jessica Ababiku era bano abawadde omwezi gumu okuleeta alipoota enambulukufu ku nsonga eno.
Ababaka ba parliament abakyala naddala abava ku ludda oluwabula government battotoledde Parliament embeera gyebayitamu mu bitundu gyebakiikirira etali nnungi, nga muno mulimu okutulugunyizibwa ab’ebyokwerinda ngabakulembeddwamu ababaka ba president ku district ezenjawulo.
Sipiika Anita Annet Among bwábadde aggulawo olutuula lwa parliament ategeezezza nti kyandibanga ba RDC bafuuse ekirala mu district ng’era akakiiko kano kalagiddwa okunonyereza ku nsonga eno.
Bisakiddwa: Edith Nabagereka