President Yoweri Kaguta Museven avumiridde abatemu abasse Tusuubira Isma Lubega amanyiddwa nga Isma Olaxes oba Jajja Ichuli.
Ichuli yakubiddwa amasasi agaamuttiddewo bweyabadde adda mu maka ge e Kyanja mu gombolola ye Nakawa mu Kampala.
Olaxes abadde yegulidde erinnya mu kwogera ku nsonga ez’enjawulo mu ggwanga, omuli eby’obufuzi, eby’abayimbi, bannakatemba n’ensonga endala ng’ayita ku mikutu emigatta bantu.
Mu bubaka bwayisizza ku mukutu gwe ogwa Twitter, president Museven agambye nti embizzi zezikkiririza mu kutta abantu abatalina mmundu.
President Musevrn agambye nti NRM ekkiririza mu kunnyonyola nsonga okwanganga abagikolokota, sso si kutta batte.
Awadde eky’okulabirako eky’abaatemula abantu e Masaka mu ttemu ly’ebijambiya, agambye nti abateeberezebwa bali mu mbuga z’amateeka bawerennemba.
Agambye nti akimanyi bulungi nti ekibiina kya NRM, NRA, FRONASA n’eggye lya UPDF, abantu bokka bebatta bebalina emmundu, naye abantu ba bulijjjo aboogera obwogezi tebabalinaako mutawaana.
President Museven asaasidde ab’oluganda lw’omugenzi Isma, era ategezezza nti alagidde avunaanyizibwa ku ntambuza y’emirimu mu maka ga president okugenda abakubagize abatwalire n’amataaba.#