Minister omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja era ye mubaka omukyala owa District ye Buduuda Agnes Nanduttu aziddwayo e Luzira, okutuusa olunaku lwenkya nga 04.may,2023 omulamuzi lw’anaasalawo oba ng’akkirizibwa okweyimirirwa ku kakalu ka kooti.
Minister Nandutu avunaanibwa kwezza eminwe gy’amabaati 2000, agaali galina okuwebwa aba Kalamoja.
Mu ngeri yeemu omulamuzi wa kkooti enkulu Jane Kajuga aragidde Oludda lwa government oluwaabi okuwa kalonda yenna akwata ku bujulizi mu musango guno eri Bannamateeka ba minister, obutasukka wiiki eno, ate olwo nga 25th omwezi guno ogwa May, omusango olwo gutandike okuwulirwa mu bujjuvu.
Okuva nga 19 April,2023 minister abadde ku alimanda e Luzira.#