Minister omubeezi ow’e Kalamoja era omubaka omukyala ow’e Buduuda Agnes Nandutu ayimbuddwa ku kakalu ka kooti ka bukadde bwa shs 10 ez’obuliwo.
Abamweyimiridde abakulembeddwamu omubaka wa Budaadiri East Nandala Mafaabi basasudde obukadde bwa shs 50 ezitali za buliwo buli omu.
Okuva nga 19 April minister abadde ku alimanda mu kkomera e Luzira.
Omulamuzi Jane Kajuga alagidde minister okuwaayo passport ye eri kooti, n’ebyapa by’ettaka 2 erisangibwa mu district ye Mukono, n’amulagira obutagezaako kufuluma ggwanga nga tafunye lukusa lwa kooti.
Omulamuzi ataddewo olwa nga 25 May,2023 okutandika okuwulira emisango egivunaanibwa minister Agnes Nandutu.
Minister Nandutu avunaanibwa okwezza eminwe gy’amabaati 2000 egaali galina okuwebwa abantu be Kalamoja.
Waliwo ne ba minister abalala abasoba mu 10 n’abakungu ba government abasoba mu 30 abagambibwa okugabana ku mabaati agaayita mu wofiisi ya ssaabaminister Robinah Nabbanja.
Ba minister abalala abawerennemba era nga basibiddwako mu kkomera kuliko ow’e Kalamoja Mary Gorret Kitutu, ne minister omubeezi ow’ensimbi Amos Lugoloobi.
Abalala abakyanoonyerezaako ye Sipiika wa Parliament Anitah Annet Among, vice president Jesca Alupo, ow’ebyensimbi Matia Kasaija n’abalala.#