Ababaka ba parliament bannakibiina kya NRM bayitiddwa mu lusirika olwenjawulo e Kyankwanzi.
Ensonga ezigenda okwogerwako tezinalambululwa.
Ensisinkano eno yakubeerawo okuva ng’ennaku z’omwezi 27 omwezi guno ogwa May okutuuka nga 05 June 2023.
Sipiika wa parliament Anita Among yaabuulidde ababaka nti yafunye ebbaluwa okuva eri abakulira ekibiina ki NRM nti ababaka bannakibiina betaagibwa mu nsisinkano eno, wabula ono tayogedde nsonga ebeetaaza.
Ababaka bannaNRM baaasemba okugenda mu lusirika e Kyankwanzi ku ntandikwa y’ekisanja ekiriko mu mwaka 2021 nga bakaloondebwa.
Enfunda eziwerako ababaka bannaNRM buli lwebabadde lusirika e Kyankwanzi, wabadde wavaayo enkyukakyuka ezenjawulo ezikolebwa naddala ezikyusa mu ssemateeka w’eggwanga.
Waliwo ebiwulirwa nti wandibaawo okwanjula ennongosereza mu ssemateeka w’eggwanga okukyusa engeri omukulembeze w’eggwanga gyalondebwamu okuva ku nkola eya Presidential system bannayuganda bonna mwebalondera president, okudda ku nkola eya parliamentary system nga mu nkola eno, ababaka ba parliament bebalonda omukulembeze w’eggwanga
Waliwo nenvuuvuumo eziwulirwa nti oba oli awo, n’ekisanja kyobukulembeze kiyinza okunaanuulwa okuva ku myaka 5 okutuuka ku myaka 7.
Olusirika olwavaako okujjulula emyaka omukulembeze w’eggwanga kwawummulira nalwo lwali Kyankwanzi.#