Akakiiko k'eggwanga akebyokulonda katandise mu butongole okuwandiisa abantu abagala okwesimbawo ku bifo by'obukulembeze bw'abakadde,abavubuka n'abaliko obulemu ( special interest groups) ku mutendera gw'ebyalo. Enteekateeka eno etandise leero nga 02 June...
Alipoota ekwata ku ddembe ly'obuntu eyakoleddwa omukago ogwa National Coalition of Human Rights Defenders, eraze nti banna Uganda bangi bayita mu kunyigirizibwa okwenjawulo naye nti batya okuvaayo okwekubulira omulanga...
Eggye lya Uganda erya Uganda People’s Defense Forces, (UPDF), mu butongole lifulumizza ekiwandiiko ekirambika nga bwerisazizzaamu enkolagana yaalyo ne goverment ya Bujirimaani mu byekijaasi, olw’omubaka w’eggwanga eryo mu Uganda, Mathias...
Munnamateeka Elias Luyimbaazi Nalukoola ng'ayita mu bannamateekabe abakulembeddwamu George Musisi ajulidde ng'awakanya ensala y'olumamuzi wa kooti enkulu mu Kampala Benard Namanya, eyasazizzaamu obuwanguzi bwe ku kifo ky'omubaka wa Kawempe North....
Akakiiko ka parliament akalondoola enkozesa y’ensimbi y’omuwi w’omusolo kayise bunnambiro omukwanaganya w’enteekateeka ya Parish Development Model (PDM) Denis Ssozi Galabuzi ne baakola nabo balabikeko mu kakiiko kano okwewozaako ku...
Kyabazinga William Gabula Nadiope IV atikkiddwa masters degree eyokubiri ekwata ku mbeera z'ensi yonna okuva mu Jackson School of global affairs mu Yale University mu USA. Abantu ba Busoga bebazizza...
Ab'oludda oluwakanya government mu Parliament beweze okufaafagana n'okulemesa Parliament okuyisa etteeka ly'ennoongosereza mu nnambika y'eggye ly'eggwanga, erya UPDF amendment bill 2025. Ababaka 30 ku babaka 109 abali ku ludda oluwakanya...