Ssaabsajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye enteekateeka y’Okulambula abantube abawangaalira emitala w’Amayanja, mu nkola eya Buganda Bumu mu kiseera kino abumbujjira mu ggwanga lya Germany mu Kibuga Berlin.
Mu bubaka obusomeddwa Katikkiro wa Buganda mu kuggulawo ttabamiruka wa Buganda Bumu European Convention 2026 mu Kibuga Berlin mu Germany, Omuteregga asiimye Omulamwa ttabamiruka ono kw’atambulidde, ogugamba nti Okukuuma Ennono n’Okwekulaakulanya ku Mawanga.

Ssaabasajja agambye nti abantu be bangi bali ku Mawanga era babeera n’Abantu bangi abalina ennono zaabwe ,era naalagira bube buvunaanyizibwa obw’Abantube ku Mawanga okukuuma ennono za Buganda zireme kuzaawa , ate nga bassa n’ekitiibwa mu Nnono z’Abantu bebabeera nabo.

Beene agambye abantu be nti tebasobola kweyagalira ku Mawanga nga tebezimbye , naabalagira babeeko ebyenkulaakulana byebakola nga abantu kinoomu, oba bakolere wamu.
Omutanda abalagidde bajjukire eka gyebaava , okubeera n’entekateeka eηηenderere ebasobozesa okusigala nga bawuliziganya n’Abeeka, Abenju zaabwe wamu n’Abakulembeze b’Obwakabaka.
Empologoma ekakasizza nti kirungi okugoberera n’Okwetaba mu ntambuza y’Emirimu mu gavumenti ye ,kibayambe okutebuka Obutego bw’Abalabe ba Buganda n’Okwekuumira awamu ng’Obuganda.

Ssaabsajja Kabaka yebazizza ababaka be , Abamyuuka baabwe n’Abakulembeze ku nkiiko zaabwe mu mabendobendo g’Obukulembeze mu Bulaaya, okuli Rhinelands,. Bungereza ne Sweden.
Yebazizza bonna abavudde ku ssemazinga ezenjawulo abafaayo ennyo okukunga abantu ba Buganda wamu n’Abanywaanyi okutekateeka n’Okwenyigira mu mirimu gy’Obwakabaka.

Empalabwa ekomekkerezza yeebaza abatesiteesi ba Ttabamiruka w’Omwaka guno Buganda Bumu European Convention 2026, ssaako n’Abantu be Germany awatudde Ttabamiruka.
Bisakiddwa: Kato Denis













