Omubaka wa Budama west Jocob Oboth Oboth alondeddwa ye sipiika wa parliament eye 12, azze mu bigere bya Nnalongo Annet Anitah Among.

Mu kulonda okuyindidde ku kisaawe e Kololo nga 25 May,2026, Oboth Oboth munna NRM afunye obululu 441, addiriddwa munna NUP Paul Mwiiru owa Jinja East n’obululu 60 , ate president wa Democratic Party Nobert Mao Omubaka wa Laro pece afunye obululu 16, songa obululu 2 bufudde.
Parliament erina okuba n’ababaka 529, wabula 519 bebakubye akalulu.
Wabula ekifo ky’omubaka omukazi owe Kalangala kikyali kikalu, olw’omubaka eyaliyo Hellen Nakimuli eyali owa NUP okufa.
Jacob Oboth Oboth olumaze okulayira nasuubiza okulwanyisa enguzi, neyeyama n’okukyuusa ekifaananyi kya Parliament.
Oboth Oboth alondeddwa mu lutuula lwa parliament olusookedde ddala e Kololo, olukubiriziddwa Ssaabalamuzi Dr.Flavian Zeija.
Oboth olumaze okulayira naatandika okukubiriza n’okulondesa omumyuka we, era Omubaka wa Ruhinda North Thomas Tayebwa Bangirana yaalondeddwa ku bumyuka.
Thomas Tayebwa awangudde obululu 457, naddirirwa Omubaka Asinasi Nyakato owa PFF akiikirira Hoima City afunye obululu 46 ne Sarah Aguti owa Dokolo nafuna 14.

Omukulembeze we ggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa abaddewo ng’okulonda sipiika n’omumyukawe kugenda mu maaso.
President Museveni alabudde ba minister bateekateeka okulonda nti wakubafumuula singa balemererwa okukolera abantu n’okubaggya mu bwavu.
Agambye nti akooye okuwulira oluyimba lw’obwavu mu bannauganda, so nga government eriko enkola zeeteekawo era nezissaamu ensimbi okukulaakulanya abantu.
President Museveni era atabukidde abakulembeze ba semugayaavu abafuna ebifo nebeerabira ababalonda nebadda mu kutuula mu wofiisi.

Okusinziira ku Kalaani wa Parliament olunaku olw’enkya nga 26 May,2026 Ababaka bakubayisizaamu ku nzirukanya y’emirimu mu parliament,Amateeka,eneeyisa y’ababaka n’ebirala.#











