Police mu Kampala n'emirirano eri ku muyiggo gwa ddereva w'emmottoka ey'ekika kya Fuso NO. UAD 081T erabikidde mu katambi akasasanye ku mikutu gyokumutimbagano ng'esabaala abantu Okusinzira ku police akabenje kano...
Abatuuze be Kkungu Buwaate ne Najjeera ekisangibwa mu Kira division baguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw'omuwala ow’olubuto okugenda mu kaabuyonjo okwetaawuluza, omwana naagwa mu kaabuyonjo. Omukyala ono mutuuze we Kkungu era ngabadde...
Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende ku kyalo Mpanga Naama, okumpi n'essomero lya Mumsa High school. Emmotoka No. UBH369J Isuzu ebadde etisse...
Police y'abazinnya mwoto kyadaaki ezikizza omuliro ogubadde gukutte ekizimbe ky'ekitongole ekivunanyizibwa ku kutereka eddagala mu ggwanga ekya National Medical Stores (NMS). Ekifo kino kibadde kikozesebwa okuterekebwamu obutimba bwensiri era kiteberezebwa...
Amasiro g'e Kasubi galangiriddwa nti gagiddwa ku lukalala lw'ebifo by'obuwangwa ebiri mu katyabaga, negazzibwa ku lukalala lw'ebifo eby'obuwangwa ebyenyumirizibwamu era ebisobola okulambulwa abalambuzi abava mu Uganda ne mu mawanga amalala....
Akulira ekitongole kya America eky'ebyenkulaakulana ki United States Agency for Development (USAID) mu Uganda Richard Nelson asabye government okussa ensimbi eziwera mu by'obulimi mu kitundu ky'e Karamoja ng'erimu ku kkubo...