Police e Ssembabule etandise okuwenja emmotoka lukululana etanamanyika namba awamu n’omugoba waayo atomedde omusirikale ow’eggye ezibizi n’emutta e Sembabule
Akabenje kano kabadde Kyamabogo ku luguudo oluva e Sembabule okudda e Gomba.
Omuserikale atomeddwa mmotoka n’emuttirawo ye Ivan Mubangizi abadde wa myaka 38.
Aberabiddeko ng’akabenje kano kagwawo bagamba nti omusirikale ono yasoose kutomerwa pikipiki nemusuula mu kkubo , yabadde akyalwana ayimukewo lukululana n’emurinnya nemutta.
Police eyitiddwa n’eggyawo omulambo.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito