Abadde omu Ku bayima ba CBS Radio Buganda Eng. Robert Hubert Kibuuka afudde!
Afiiridde ku myaka 72 mu makaage agasangibwa e Kikaaya Kawempe municipality mu Kampala.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayogedde ku mugenzi ng’eyakola ennyo mu kutongawo ebitongole by’obwakabaka ebiwera okuyita mu kitongole kya Buganda Economic Bureau.
Yoomu ku baatandikawo CBS fm era ng’abadde atuula ku lukiiko olufuzi olwa CBS, nga yabadde ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku bya Technology.
Eng.Kibuuka ye ssentebe eyasooka owa BUCADEF ekitongole ky’ebyenkulaakulana eky’ebyobulimi n’obulunzi.
Ssentebe ya wa board eddukanya CBS omukungu Mathias Katamba ayogedde ku mugenzi nga abadde omuwabuzi era eyebuzibwako ku nsonga nnyingi eza Radio CBS.
Ssenkulu wa CBS Omuk. Micheal Kawooya Mwebe agamba nti Eng. Kibuuka yakola nnyo okubalungamya mumyaka gy’abwe nga bakava mu ssomero, ekibayambye okukola emirimu gyabwe obulungi.
Kawooya Mwebe agamba nti owek. Kibuuka abadde musajja mumalirivu omuyiiya ate nga bwabaako ensonga gy’ayagala agiremerako okutuusa ng’egguse.
Robert Kasozi nga yavunanyizibwa ku ntambuza ye mirimu mu Radio CBS ategeezezza nti Radio CBS nóbuganda bufiiriddwa omuwi wa magezi atazikawo olwobumanyi bwabadde nabwo mu bintu eby’enjawulo.#