Okuwulira okusaba kw’okweyimirirwa okwa amyuka mayor wa Kampala Central Hannifer Mpungu okuyimbulwa ku kakalu awoze emisango gy’obufere ng’ava waka tekusobose, fayiro y’omusango gwe yatwaliddwa Police okuddamu okugyekkeneenya.
Omuwaabi wa government Miriam Akite ategeezezza kkooti ento e Nakawa nti okusaba kwa Mpugu okweyimirirwa tekusoboka kuwulirwa nga fayiro kw’avunaanibwa teriiwo mu kkooti.
Wadde nga Bannamateeka ba Mpungu basiimbidde ekkuuli ensonga eno, omulamuzi akkiriziganyiza n’oludda oluwaabi bwatyo kwekuzza Mpungu ku meere e Luzira okutuusa nga 4th October,2023.
Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti, mu 2021 Mpungu yajingirira ekyapa ky’ettaka erisangibwa ku plot 4 Berkeley Road mu municipality ye Entebbe naliguza omutuuze Grace Mulinde, naamuwa obukadde bwa shs 450.
Oludda oluwaabi era lulumiriza nti Mulinde bweyatandika okukozesa ettaka, newavaayo abantu abagambibwa okuba bannyiniryo nebaleeta n’ekyapa nga kituufu era nebalimuggyako.
Mulinde agamba nti era olwadda ewa Mpungu okubanja ssente ze, yadda mukumubuzabuza.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam