Alipoota ya Kaliisoliiso wa government eya January okutuuka mu June w’omwaka guno 2023, ekwata ku bulyi bw’enguzi, eraze nti IGG yafuna emisango 3,504 nga mujjo ensimbi obuwumbi 38 n’obukadde 7 zezalina okununulwa.
Ku nsimbi zino yasobodde okununulaako obuwumbi 7 mu obukadde 99 zokka, nga ensimbi obukadde 30 IGG yalemereddwa okuzinunula
Alipoota eraze nti emisango 1,528 gyanonyerezeebwako ,emisango 92 gyatwalibwa mu kooti negiwulirwa ,abantu 43 kooti yabasingisa emisango gy’okulya enguzi.
Bwabadde afulumya alipoota eno ku Parliament mu Kampala Kaliisoliiso wa.government Betty Olive Namisango Kamya alayidde nti siwakuweera okutuusa nga obulyake abulinnye ku nfeete.
Wabula ono alaze okutya olwa banenne mu ggwanga abefudde mmo mukulya enguzi
Kasujja Vicent okuva mu yafeesi ya Kaliisoliiso wa asabye ssabawaabi wa government abayambeko okufuna etteeka eriwa kaliisoliiso obuyinza okubowa emmali yabalyake okununula ensimbi z’omuwi w’omusolo.
Commisioner wa parliament era Omubaka Omukyala owa District ye Zombo Esther Apoyo ochan nga yakiikiridde sipiika wa parliament asabye IGG anaonyereze ne ku nsimbi za Parish Development Model agambye nti abamu kubakulu baatandiika dda okuzekomya.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius