BannaUganda 13 abaali baawambiddwa eggye lya South Sudan nebatwalibwa mu Sudan kyaddaaki bateereddwa, oluvannyuma lwa government ya Uganda nayo okukwata munnansi wa South Sudan abadde yabudamizibwa kuno.
Bannauganda bani baali baawambibwa mu gombolola ye Kooki esangibwa mu district ye Yumbe , nga baali batwaaliddwa ku biragiro byÓmunoonyi wÓbubudamu era omukulembeze wénnono mu South Sudan Erinesto Tumiya, abadde awamba ettaka lya bannauganda ng’agamba lye South Sudan.
Omwogezi wa police mu Uganda Fred Enanga, ategeezezza nti Erineyo agobeddwa mu Uganda era nakwasibwa government ya South Sudan.
Mungeri yeemu ategeezezza nti government ya Uganda yaakukola ekisoboka okwerula ensalo zaayo ne South Sudan okumalawo obukuubagano.#