Government okuyita mu ministry y’ebyenjigiriza efulumizza ensimbi obuwumbi 109 n’obukadde 710, eziweerezeddwa amasomero ga government naddala agalina enkola ya bonna basomese mu secondary ne primary okwetolola eggwanga.
Ensimbi zino ziweereddwa amasomero okwewala abayizi okutaataganyizibwa mu kweteekerateekera emisomo gy’olusoma luno oluggalawo omwaka.
Dr Dennis Mugimba, ayogerera ministry y’eby’enjigiriza ategezezza nti ku buwumbi 109 n’obukadde 710, amasomero ga UPE gakufunako obuwumbi 61 n’obukadde 490, ate aga secondary obuwumbi 48 n’obukadde 240.
Ministry y’eby’enjigiriza egamba nti amasomero ga government agawera 13,693, gegagenda okuganyulwa mu nsimbi zino, kuliko aga primary 12,433 ate aga secondary gali 1,260, wabula amasomero ga KCCA e 10 tegatereddwa mu nteekateeka eno.
Dr Mugimba agamba nti sente zino obuwumbi 109 zikola ebitundu 33% kwezo ezirina okuweebwa amasomero mu mwaka omulamba ogwebyensoma.
Omwaka omulamba amasomero ga government gaweebwa ensimbi obuwumbi 329 n’obukadde 160.
Mugimba asabye amasomero agatanafuna nsimbi zaako mu nteekateeka eno okuwandiikira ministry y’eby’enjigiriza bunnambiro.
Mu mwaka gwebyensimbi guno 2023/2024 government eteekateeka okusaasaanya ensimbi eziwera trilion 2, nobuwumbi 139, ng’amasomero ga primary gakuweebwa trillion 1 n’obuwumbi 309 ate aga secondary obuwumbi 830 n’obukadde mu 600.
Ensimbi zino zibalirirwamu okusasula emisaala, okulakulanya amasomero, omuli n’okuzimba ebizimbe, okugalondoola, okugula ebyetaagisa nebirala.
Bisakiddwa: Ddungu Davis