Omubaka wa Kawempe North mu Parliament ya Uganda Mohamed Sseggirinya akomyewo okwaboobwe okuva mu ddwaliro lya Universal Medical hospital mu Budaaki.
Sseggirinya amaze ebbanga erisoba mu mwezi omulamba ng’ali mu ddwaliro, okuva lweyayiimbulwa okuva mu kkomera, ng’awerennemba n’emisango egyekuusa ku ttemu eryali mu kitundu kye Masaka mu 2021.
Bwatuuse ku kisaawe e Ntebe asanze abawagizi be okuva mu Kawempe North bamulinfiridde.
mubaka Segirinya agambye nti okusinziira ku bujanjabi bwafunye n’ebiragiro by’abasawo alina endwadde ez’enjawulo era bamusibudde agira adda ewaka ng’alina okuddayo ayongere okujanjabibwa.#