Kooti ya City Hall mu Kampala ne Buganda road basindise abantu abalala 40 ku alimanda mu kkomera e Luzira, ku bigambibwa nti betabye mu kwekalakaasa kw’okuvumirira enguzi, okwabaddewo nga 23 July,2024, okwatuumwa March to parliament.
Abantu abalala abasoba mu 50 bebaasoose okusindikibwa e Luzira, gyebanaava batandike okwewozaako.
Kigambibwa nti abekalakaasi baabadde bakutte ebipande ebivumirira enguzi gyebagamba nti efumbekedde mu parliament ya Uganda, bagguddwako ogw’okugezaako okutabangula emirembe.
Balagiddwa okudda mu kooti nga 29 July, 2024, nga fayiro z’emisango gyabwe bwezitegekebwa.
Abantu abali ku alimanda baweze 94.
Bisakiddwa: Betty Zziwa