Abatuuze mu bizinga bye Bussi mu district ye Wakiso bavudde mu mbeera nebatabukira ministry y’ebyettaka mu ggwanga, bagirumiriza okwekobaana naabamu ku beeyita bannanyini ttaka okubagobaganya, ettaka lyabwe liweebwe abasigansimbi.
Ettaka eririko kalumanywera liri ku Block 554, lituddeko abatuuze abakunukkirizza mu mutwalo mulamba.
Abatuuze bano okuli ab’ebibanja n’abalinako ebyapa babadde mu lukiiko olutudde ku kyalo Naakusaza mu gombololola ye Bussi, nebategeeza nti enteekateeka z’okubagobaganya zaatandise nakupima mpenda, n’okutaggulula ettaka eriri ku block 554 erigambibwa nti lyali lyayingiramu block eya 571.
Ssentebe w’eggombolola ye Bussi Mukalazi Charles Ssenkandwa agamba nti ekisinga okwenyamiza nti abakulu mu ministry y’ettaka tebaasoose kubeebuzaako ng’abakulembeze, era nabo ebigenda munmaaso baabyekanze bwekanzi, ekibawalirizza okwekubira enduulu abantu babwe basobole okuyambibwa.
Wabula omwogezi wa Ministry y’ebyettaka Denis Obbo mukwogerako ne CBS FM Emmanduso akakasizza nti enteekateeka z’okukyusakyusa block z’ettaka bwekitali Bussi wokka, era asabye abatuuze okusooka okulindako bamalirize omulimu guno, oluvannyuma baakuyita olukiiko lw’abatuuze olwawamu okubabuulira ekyenkomeredde.
Ebizibu byettaka mu district ye Wakiso byeyongedde esanji zino, ng’ebyalo ebisinga obungi waliwo abakaaba, olwa bantu ababalaaliika okubasengula ku ttaka.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo