Abazigu abatanategerekeka bibakwatako basasindiridde amasasi mu mmotoka ya buyonjo, abantu babiri bateeberezebwa okubanga bafudde, ku kkubo erigenda e Buddo mu gombolola ye Nsangi, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Obulumbaganyi buno bukoleddwa ku saawa nga 2 ez’ekiro kya nga 23 July,2024.
Abazigu bano babadde batambulira ku pikipiki.
Abeerabiddeko bagamba nti Abazigu bano basoose kukuba Masasi omusajja abadde atambulira mu mmotoka ekika Kya Primo UAK 375U, negakwatiramu omukyala abadde atunda amatooke emabbali g’e kkubo.
Abalumbaganyi bano kigambibwa nti bwebamaze okusasira amasasi mu mmotoka eno nebateekako kakokola tondeka nnyuma.
Oluvannyuma amagye ne police bizinzeeko ekifo kyonna, ekiviiriddeko akalippagano k’ebidduka ak’amaanyi.#