Abantu abasba mu 50 basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira, bavunaanibwa kwenyigira mu kwekalakaasa kw’okuvumirira enguzi n’obulyake ebisaanikidde eggwanga.
Abavunaanibwa bakwatiddwa mu kibuga Kampala, nebasimbibwa mu maaso g’omulamuzi wa kooti ye Nakawa ne Buganda road, nebasomerwa emisango gy’okweyisa ng’ekitagasa n’okubeera bakireereese.
The group appeared before the Nakawa and Buganda Road chief magistrates Court amidst tight security from Uganda police .
Omulamuzi Ritah Kidasa Neumbe abalagidde okudda mu kooti ku nnaku zanjawulo, wadde nga bakwatiddwa ku lunaku lwe lumu.
Abamu ku bakwatiddwa mulimu munnamawulire
Faiza Salima, omusawo Dr.Thomas Kanzira , abayizi okuva mu matendekero agenjawulo, n’abalala.
Kigambibwa nti basangiddwa mu bifo bya Kampala ebyenjawulo nga bakutte ebipapula ebiwandiikiddwa obubaka obuvumirira enguzi, saako okusaba sipiika wa parliament Anitah Annet Among alekulire.
Bakwatiddwa ku luguudo lwa Parliamentary Avenue ne ku Oasis Mall Nakumat, nga police egamba nti tebaaweereddwa lukusa lwekalakaasa, saako okulinnyirira eddembe ly’abalala olw’engeri gyebabadde beyisaamu, omuli n’okutuula mu luguudo wakati, saako okugezaako okutabangula emirembe mu ggwanga.
Bannamateeka okuva mu bitongole ebyenjawulo okuli ne president w’ekibiina ekitwala bannamateeka ekya Uganda Law Society babaddewo mu bungi mu kooti okuwolereza abakwate.
Bisakiddwa: Betty Zziwa