Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alaze abakulembeze ku ssemazinga wa Africa obukulu bw’abakulembeze b’ennono mu kulwanyisa siriimu, naabasaba abalala balabire ku ngeri Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gy'akulembeddemu...
Omutendera Kinyoolankoto mu program Entanda ya Buganda gutandise na maanyi ku CBS FM 88.8, abamegganyi entuuyo obwedda bazisaza bibatu. Abamegganyi Kiberu Kizito Kamya eyafunye obugoba 28 ne Sserwadda Samuel eyafunye...
Omulimu gw'okuzimba eddwaliro lya Buganda mu ssaza Singo erya Muteesa II Health Center IV gugenda bukwakku, oluvannyuma lw'ebbanga lya myezi 6 bukyanga gutongozebwa. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yagitongoza...
Omutendera gwa Kasambalyanda mu Program Entanda ya Buganda ku 88.8 CBS fm, abamegganyi Kisomose Ssegawa James afunye obugoba 27 ne Kayemba Walugembe eyafunye obugoba 24 basuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako,...
Abamegganyi; Bukenya Francis eyafunye obugoba 22 ne Nnassiwa Prossy eyafunye obugoba 17 baasuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako, ate Ssemmanda Joel eyafunye obugoba 14 yawanduse. Biibino ebibuuzo by’Entanda nga 01 December,2033...
Bannakyaddondwa bakiise embuga mu nkola ya luwalo lwange, baleese ensimbi ezisoba mu bukadde bwa shs 35. Eggombolala bbiri okuli Mutuba IV Masekkati ne Mutuba V Kawempe zezikiise embuga. Minister wa...