Abadde omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu lukiiko lwa Buganda olukulu Owek. Dr. Jack Mukiibi Ssengero Luyombya avudde mu bulamu bw’ensi.
Jack Luyombya yoomu ku bantu abetaba mu lutalo olwaleeta government ya NRM mu buyinza.
Jack Luyombya azze akyogera lunye nti ekyamutwala mu nsiko kwali kulwana okuzaawo Obwakabaka bwa Buganda obwali bwawerebwa government ya Milton Obote, n’okuzzaawo enfuga etaambulira ku mateeka.
Dr.Jack Luyombya abadde musawo omukugu era nga yaliko ssentebe w’olukiiko oluddukanya eddwaliro ekkulu e Mulago.
Dr.Luyombya yalekulira obukulu obwo nga yemulugunya olwa sente ento ezaali zissibwa mu ddwaliro eryo, so nga ly’eddwaliro ly’eggwanga ekkulu.
Dr. Jack Luyombya ye yali omukiise wa Gomba mu lukiiko olwabaga ssemateeka wa Uganda owa 1995.#