Libadde ssanyu ssa mu Mbuga ya Bulange e Enkulu e Mengo, nga Katikkiro w’Obwakabaka bwa Eswatini Obukulemberwa Kabaka Muswati III, bw’abadde atuuka e Mengo.
Katikkiro wa Eswatini Russell Mmemo Dlamini ayaniriziddwa Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga,amutegeezezza ku bwetaavu bwenfuga eya Federo, okukulaakulanya Obwakabaka ne Uganda yonna gyebwetaaga, kyokka nga kino kyakutukibwako mu mpola mpola.
Katikkiro mungeri yeemu annyonnyodde Obukulu bw’Abakulembeze b’Ennono mu Bwakabaka bwa Buganda, abataka abakulu b’Obusolya n’abakulembeze ku mitendera egyenjawulo Ssaabasajja baasiima naalonda, bagambye nti bakola Kinene okusitula embeera z’abantu ba Kabaka.
Katikkiro wa Buganda ategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda bwakwongera okunyweza enkolagana yabwo n’Obwa Eswatini, okusitula embeera z’abantu mu ngeri zonna.
Katikkiro ategeezezza nti ssinga Obwakabaka butambuliza enkola yaabwo ey’emirimu mu nfuga eya Federo, ensimbi eziva mu Buganda zisobola okukozesebwa mu nkola ennungamu, neziyamba Buganda ne Uganda eya wamu.
Katikkiro mu ngeri yeemu akkaatirizza nti Obwakabaka bwa Buganda okufaananako nObukulembeze Obulala, bukkiririza mu Ssaabasajja Kabaka olw’entekateeka ezenkulaakulana zaalina eri abantube, nga buyita mu kusomesa abaana, Okulima Emwaanyi, okuggumiza Bulungibwansi, Okusiga ensimbi.
Katikkiro wa Eswatini Russell Mmemo Dlamini yeebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okubeera ettundutundu ku Uganda eyaawamu, kyokka naasaba nti enkulaakulana yonna eyegombebwa okutukibwako mu Buganda ne mu Africa yonna ekulembeze emirembe n’Obumu.
Ensisinkano eno yetabiddwaako Omulangira David Kintu Wassajja, Omulangira Daudi Chwa, Omulangira Fredrick Walugembe,ba minister b’Obwakabaka omubadde Owek Patrick Luwagga Mugumbule, Owek Joseph Kawuki, Owek Anthony Wamala, Owek Nakate Cotilda Kikomeko, Owek Israel Kazibwe n’abakungu mu Bwakabaka bangi.
Katikkiro wa Eswatini Russell Mmemo Dlamini alambudde ebimu mu bifo ebyenkizo mu Bwakabaka, omuli n’ebitebe byempuliziganya mu Bwakabaka okuli CBS ne BBS Terefayina.
Bisakiddwa: Kato Denis