Ekisaakaate mga Nnaabagereka 2024 ekimaze wiiki 2 kiggaddwawo Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku ssomero lya Hormisdallen primary school e Gayaza.
Omukolo guno gwetabiddwaako Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga,Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Ba Jjajja abataka aboobusolya ,ba minister ba Ssaabasajja Kabaka,abaami b’Amasaza, n’abakungu ku mitendera egyenjawulo, wamu n’abazadde b’abasaakaate.
Ekisaakaate kyatandika nga 04 January 2024,nekikomekkerezebwa nga 20 January,2024.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abazadde okulondoola abaana wonna webali n’okumanya byebakola era babalungamye ekisaanidde.
Katikkiro agambye nti abazadde okulagajjalira abaana nebatamanya byebayitamu kabonero akenkukunala akooleka obugayaavu, kweekubasaba babawonye okwonooneka.
Minister w’Ebyenjigiriza, Ebyobulamu ne yafeesi ya Maama Nnaabagereka Owek Cotilda Nakate Kikomeko asabye Abasakaate ababanguddwa okutambuza enjiri yeebyo byebasomye mu bannaabwe abatafunye Mukisa, nga babasisinkana mu masomero , n’Okukwasizaako abazadde mu mirimu egyenjawulo.
Ssentebe wa Nnaabagereka Development Foundation Omuk Jeff Ssebuyiira yebazizza Ssaabasajja Kabaka ne Nnabagereka Olw’amaanyi gebatadde mu kutaasa emiti emito nga bayita mu kisaakaate nga bagibangula Kati emyaka egikunukkiriza mu 20.
Ssenkulu w’ekitongole ekiwooza ky’omusolo ki Uganda Revenue Authority John Musinguzi, ategeezezza nti mu Kisaakaate kino URA esobodde okubangula Abasakaate ebikwata ku kusasula Omusolo, olwo babeere abatuuze abettanira enkulaakulana.
Omutandisi w’Essomero lya Hormsdallen primary school Kizito Mukalazi, asabye ekisakaate 2025 nakyo kimuweebwe akikyaaze, mungeri eyenjawulo neyeebaza Nnaabagereka olw’Okwolesebwa omulamwa oguwa essuubi.
Dr Grace Nambatya nga yakiikiridde Dr.Medard Mitecerezo ssenkulu wa National Drug Authority ababadde abasaale mu kulungamya Abasaakaate ku biragalalagala , asabye abazadde okufunira Abaana obudde obumala era babuulire ku kabi akali mu biragalalagala, olwo bataase ensi eno ebizibu ebiva mu kukozesa ebiragalalagala.
Omuyizi Newton Kasasa, yeyasinze mu bayizi bonna era Katikkiro amukwasizza ekirabo ky’eggaali eyawebwayo Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga.
Bisakiddwa: Kato Denis