Abatunda eby'okulya mu Nkuuka Tobongoota beyoolera nismbi, olw'abantu abaakedde okweyiwa mu Lubiri e Mengo. Chapati ne kasooli bye bimu ku by'okulya ebisinze okuleetebwa mu bungi, so nga n'abatunda emmere n'eby'okunywa...
Abantu enkoko bajikutte mumwa okuyingira mu Nkuuka Tobongoota etandise okuyindira mu Lubiri lwa Kabaka e Mengo. Abantu abasinga abavudde mu bitundu bye wala esaawa wezaaweredde omukaaga ez'ekiro nga bus zitandise...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde government amagezi nti okumalawo ebikolwa eby'okulinnyirira eddembe lya bannamawulire, nti kittattana ekifaanayi ky’eggwanga. Katikkiro agambye nti ebikolwa omuli abakuuma ddembe okukuba n’okubuzaawo bannamawulire,...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka okusoosowaza Obufumbo n'okukolera awamu okubuyimirizaawo, nti kubanga amaka ge gamu ku masiga Buganda eyeeyagaza kwerina okutuula. Katikkiro agambye nti Obufumbo...
Mutabani wa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nga ye Charles Bbaale Mayiga (CJ) ayanjuddwa munne Sonia Elizabeth Nabagereka. Omukolo ogw'ekitiibwa gubadde ku kyalo Migadde Lukomera Katikamu mu ssaza lye...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye abaweereza mu bitongole by’Obwakabaka bonna olw’Obujjumbize mu nkola y’emirimu gyabwe, nga kino kitundu ku nkulaakulana y’Obwakabaka. Mu bubakabwe bwatisse Omulangira David Kintu Wassajja...
Omutendera gwa Program Entanda ya Buganda Kakongola-zziga omuva abazira abattunkira mu maaso ga Ssaabasajja mu Lubiri gutandise na maanyi. Okwawukanako n’emirundi egiyise, ku mutendera guno, abamegganyi bana bebajja mu studio...
Abayizi 580 bebatikkiddwa ku ssettendekero wa Muteesa I Royal University (M1RU)abawala bakize ku balenzi obungi babadde 363 ate abalenzi 217. Gano ge matikkira ga University eno ag'omulundi ogwe 11, gabadde ...
Mu lumeggana Kinyoolankoto mu program Entanda ku 88.8, nga 11.12.2023, Abamegganyi; Kayemba Walgembe eyafunye obugoba 23 n’omukyala Nnasiwa Pross eyafunye obugoba 19 baayiseewo okwesogga olumeggana oluddako ate Kizito Innocent eyafunye...