Minister w’ebyenjigiriza, eby’obulamu ne wofiisi ya Nnaabagereka Owek Cotilda Nakate Kikomeko yebazizza Ssaabasajja Kabaka okusiima amuweereze nga minister we.
Omukolo gubadde ku Wakissha Resource Centre e Wakiso, gwetabyeko ebikonge okuva mu Bwakabaka, government eya wakati ne Klezia.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde ku mukolo guno n’agamba nti Ssaabasajja okusiima Owek Nakate Kikomeko tekwava mu bbanga, wabula kwava kwebyo byazze akolera Obwakabaka mu biti ebyenjawulo.
Katikkiro mungeri eyenjawulo asabye abaweereza abatanasiimibwa Maasomooji obutakoowa kukola, kyokka naabasaba okubeera ekyokulabirako eri buli muntu n’okwolesa obuguumiikiriza.
Katikkiro avumiridde omuze ogukyase mu Uganda ogw’abantu abagujubanira ebitiibwa, nti kiviiriddeko empeereza y’emirimu mu Uganda okufa kubanga abantu tebakyafaayo ku buweereza wabula bakulembeza kususuutibwa na bitiibwa.
Wabula ategeezezza nti bwoweereza obulungi ekitiibwa bakikuwa, naddala ng’obuweereza bwo bulimu ouyiiya, obunyiikivu, obwerufu, ate n’okukola n’okwagala.
Omusumba wa Kiyinda Mityana era ssentebe w’Abepisikoopi mu Uganda Joseph Anthony Zziwa nga yaakulembeddemu ekitambiro kya mmisa ,yebazizza omujaguza Owek Nakate obutateeka kyegyo mu mirimu, naaba ekyokulabirako eri abakyala.
Omukulu w’Essiga lya Ggulu Ssozi John Musajja Akaawa nga yakiikiridde Omutaka Mukalo Omukulu w’Ekika ky’Enjovu ,yebazizza muzzukuluwe Owek Cotilda Nakate Kikomeko olwokufuba ennyo naasoma nataswaza bazadde be n’Ekika ky’Enjovu.
Omwami wa Ssaabasajja Kabaka atwaala essaza Busujju ,Kasujju Mark Jingo Kaberenge II agambye nti Owek Nakate kyakulabirako kinene eri abakulembeze ku mitendera egyenjawulo, nga atendese abantu bangi abalimuddira mu bigere.
President w’abasomesa mu Uganda Brother Augustine Mugano yebazizza Ssaabasajja Kabaka olwokuteeka Obwesigwa mu basomesa, era nasiima bamuweereze nebeeyama okukwasizaako Obwakabaka okusitula emirimu gy’Empalabwa.#
Bisakiddwa: Kato Denis