Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akuutidde abazadde okukomya okulekera abasomesa ensonga zonna ezikwata ku baana baabwe ne batabeera mu bulamu bwabwe obw’okubalambika mu byensi.

Katikkiro agambye nti abazadde bwebeesuulirayo ogwannaggamba, kiiviiriddeko abaana bangi okukula omuwawa n’abandi obutamaliriza misomo.
Katikkiro abadde mu maka g’Omukungu Kasozi Robert avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu CBS e Sseguku, ku kabaga k’okwebaza Katonda olwa muwala wabwe Nalwoga Roberta Kasozi eyakuguse mu Busawo n’okulongoosa abantu okuva mu Makerere University.
Kasozi yeebazizza muwalawe olw’okusoma n’amaliriza kyokka neyemulugunya olw’obugubi obuli mu kusoma okw’ensangi zino.

Omukolo gwetabyeko ba minister ba Buganda, abakulira ebitongole bya Buganda ebyenjawulo, abakozi ba CBS n’abantu abalala bangi.
Abayizi 12,913 bebatikkiddwa ku matikkira ga Makerere University ag’omulundi ogwe 74.
Bisakiddwa: MK Musa