Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza ebijaguzo eby’emyaka 25, okuva ettendekero ly’Obwakabaka erya Buganda Royal Institute of Business and technical Education Mengo lweryataandikibwawo.
Ebikujjuko bitongolezeddwa ku matikkira g’abayizi b’ettendekero lino ag’omulundi ogwe 18.
Abayizi 1,379 batikkiddwa era nebawebwa amabaluwa gabwe ku mitendera egyenjawulo,
491 bafunye Diploma mu masomo ag’enjawulo, 732 ba Certificate ate 156 ba DIT.
Abayizi abalenzi bali 706 ate abawala 673.
Katikkiro awadde abayizi abatikkiddwa amagezi,okusooka okukozesebwako bafune obumanyirivu mu bintu byebakuguseemu, olwo balyoke balowooze ku by’okwetandikirawo emirimu.
Bwabadde ayogerako eri abayizi abatikkiddwa, minister w’Ebyenjigiriza, ebyobulamu ne wofiisi ya Nnaabagereka Owek Cotilda Nakate Kikomeko,alabudde nti ssinga abayizi abatikkiddwa tebateeka buntu bulamu mu byebakola ensi yaakubakaluubirira, naabasaba obutaswaza Bwakabaka.
Mu ngeri yeemu alabudde abayizi mu matendekero gonna okulwanyisa omuze gw’obutali bwesimbu obusukkiridde mu baweereza ku Mirimu egyenjawulo, ekiviiriddeko emirimu okudobonkana.
Ssenkulu w’Ettendekero lya Buganda Royal Institute of Business and technical Education Mengo Kakeeka Owek Joseph Balikuddembe Ssenkusu, asabye abayizi Okuteeka mu nkola ebibasomeseddwa, okukuuma obwesigwa, okubeera abeerufu era abakozi ,baleme kuswaza kitiibwa kya ttendekero lino.
Ssenkulu w’Ekitongole ky’ebyempuliziganya mu ggwanga ki Uganda communications Commission Nyombi Thembo, yeeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’amaanyi gaatadde mu by’enjigiriza , n’asaba abatikkiddwa obutabongoota bongole ku bitabo byabye ku madaala ag’enjawulo.
Nyombi Thembo ng’omugenyi owenjawulo ku matikkira gano yeyamye okusakira ettendekero lino ebikozesebwa ebyomulembe, okwongera okubangula abayizi mu bya technology.
Abayizi 16 bayitidde mu ddaala erisooka nga bakulembeddwa Namakula Jesca eyafunye obubonero 4.89, era Ono akoonodde diploma mu kusomesa abaana abato.
Bisakiddwa: Kato Denis