Katikkiro wa Buganda alambudde edduundiro ly’ente erya National Research Organisation , eririko ente ezisoba mu 300 nga zirundibwa mu kifo ekifunda.
Ente zino zivaamu emiganyulo mingi naddala omuli obusa obukozesebwa mu kukola amasannyalaze agaddukanya ekifo kino.
Kamalabyonna akubiriza abantu okwemanyiiza okulimira n’okulundira awafunda bave mu nkola eyedda ey’okumala okufuna ettaka ddene.
Agambye nti omulembe guno tulina kutetenkanyiza ku katono ketulina.
Mu ngeri yeemu Katikkiro alambudde e Kituuza-Mukono ku kifo webanoonyereza ku kirime ky’emmwanyi ekya National Coffee Research institute.
Awerekeddwako Owek Hajji Amisi Kakomo, Oweek Israel Kazibwe n’abakungu ba BUCADEF.
Bakyaddeko ne ku Mukono Zonal Agricultural Research and Development institute, ekifo webaaluliza enkoko, eby’ennyanja, n’ebimera ebirala, wamu n’okusomesa abantu okulimira awafunda.
Director w’ekifo kino, Muky. Barbra Zawedde yakulembeddemu okulambuza Katikkiro ne Baminister.
Ssenkulu wékitongole ekinoonyereza ku nsigo zémmere ezenjawulo ki NARO Dr Yona Baguma, asabye abalimi mu Buganda ne Uganda yonna okulima nga bwebalunda nÓkukola okwebuuza okumala, olwo Obwavu bufuuke lufumo.

Minister wébyobulimi Obulunzi nÓbweegassi Owek Haji Hamis Kakomo, ategeezezza nti kaweefube wÓkulambula ebifo ebyenjawulo omwekeneenyezebwa ebyobulimi kuwadde Obwakabaka omukisa okumanya abantu ba Ssabasajja byebetaaga okwekulaakulanya, omuli nÁmagezi agava mu bakugu.
Bisakiddwa: Kato Denis