Ssenkulu w’ekitongole ekiwooza ky’omusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority, John Musinguzi asambazze ebyafulumira mu gimu ku mikutu gy’amawulire ebyalaga nti baali bategese okuwooza omusolo ku birabo bya Kabaka n’oluwalo oluleetebwa abantu ba Kabaka.
Musinguzi akiise e mbuga mu Bulange Mmengo, mwasisinkanidde Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga n’annyonyola nti oluwalo n’ebirabo bya Kabaka tebiri ku mitendera gy’ebintu ebisatu egiwoozebwako omusolo mu ggwanga Uganda.
Emitendera egiwoozebwako omusolo mu Uganda kuliko, Omusaala gw’abakozi Pay as You Earn, Eby’obusuubuzi oba kiyite Business n’omusolo oguwoozebwa ku bizimbe ogumanyiddwa nga Property Tax.
Musinguzi yeebazizza Katikkiro bulijjo okukozesa eddoboozi lye okubayambako okukunga banna Uganda okuwa omusolo kyagambye nti kibayambye nnyo mu mirimu gyabwe.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ku lulwe, yeebazizza aba URA olw’okukolagana obulungi ne Buganda nga bano kati banywanyi bamukago ne Ekisaakaate kya Nnaabagereka, Ekitongole kya Buganda eky’Ebyobulambuzi, Buganda Heritage and Tourism Board ne CBS PEWOSA.
Mu mbeera yeemu Kamalabyonna awadde amagezi eri abalina business okufuba okuziwandiisa mu mateeka mu bitongole ng’ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa business mu Uganda, okukuuma ebitabo beewale okufiirizibwa.
Era abakubirizza okujjumbira okulaga ennyingiza yaabwe mu kitingole ekiwooza ky’omusolo, baleme okulekera ebbeetu URA okubagerekera emisolo ng’egeraageranya bugeraageranya.
Agambye nti singa abantu bakola obuvunaanyizibwa bwabwe kukusasula emisolo, ne government n’ekola ogwayo ng’okukola enguudo, n’okutereeza eby’obujjanjabi mu ggwang, ebyenjigiriza n’ebirala, eggwanga lyakukulaakulana.
Mukuuma Ddamula mu ngeri yeemu asabye aa URA okukwata obulungi abawi b’omusolo nti kubanga okuwa omusolo sikibonerezo era nga weetaagisaawo omukwano wakati w’abaguwa n’abagusolooza.
Mu nsisinkano eno, aba URA baguze ne Certificate ya nsimbi obukadde butaano ng’oluwalo lwabwe olugguddewo omwaka guno 2024.
Ensisinkano eno yeetabyemu Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek Robert Waggwa Nsibirwa, Minisiter w’amawulire Owek Israel Kazibwe Kitooke, Omuk. Roland Ssebuufu Ssenkulu wa BICUL n’abalala abawerekedde ku Ssenkulu wa URA.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K