Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalambula omwalo gwe Katosi mu ssaza Kyaggwe.
Maasomooji alambudde ne ku bantu abakolera ku mwalo guno, era nga babadde tebamusuubira kubeera mu kitundu ekyo.
Alambudde abavubi, abasuubuzi b’ebyamaguzi ebyenjawulo omuli n’abatunzi bébyenyanja bonna nga babugaanye essanyu.
Wiiki 2 eziyise Omutanda era yalambulako ku mwalo gwe Mulungu mu gombolola ye Makindye.#