Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde ettendekero lya Buganda Royal Institute of business and Technical studies e Mengo Kakeeka, okulaba engeri gyeryetegeseemu okubangula abavubuka mu nkola y’emirimu, mu bbanga ery’emyaka 10 egijja mu maaso.
Katikkiro ng’ali wamu ne minister w’ebyenjigiriza, eby’obulamu ne wofiisi ya Nnabagereka Owek.Cotilda Nakate Kikomeko, ne ssenkulu wa BICUL Omuk.Roland Ssebuufu, bambudde ebibiina omusomesebwa eby’Emikono okuli Ababazzi, Abasibi b’Enviiri, abazimbi, Bannamawulire,Abakanika n’abasoma Eby’okwewunda n’okulabirira ensusu.
Katikkiro ajjukizza abaweereza ku ttendekeroono okubeera abasaale munkubangula abakozj abali ku mutindo ogusaanidde ate nga besimbu.
Mungeri yeemu Katikkiro akubirizza abaweereza mu Bwakabaka, okubeera ekimu , okukolagana obulungi n’Okubeera abesimbu mu nkola y’emirimu.
Ssenkulu wa Buganda Royal Institute of Business and technical Education Kakeeka Mengo Owek Joseph Balikuddembe Ssenkusu , agambye nti Obukugu obuweebwa abavubuka mu Buganda ne Uganda yonna ku ttendekero lino buli ku mutindo ogusaanidde ddala oguteekateeka abayizi mu nkola y’emirimu eriko n’ebiseera ebijja.
Owek Ssenkusu ategeezezza nti nga Obwakabaka buli wamu ne bannamikago omuli government ye Norway bayambyeeko Abanoonyi b’Obubudamu okuva mu mawanga agataaguddwataaguddwa entalo, nga bangi ku bano babanguliddwa mu matendekero ga Kabaka agenjawulo.
Bisakiddwa: Kato Denis