Omutiibwa Emmanuel Carninal Wamala atenderezza abakulembeze mu Bwakabaka bwa Buganda olw’emirimu egisitudde Obwakabaka gyebakola, nga bakulembeddwamu Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Agambye nti obuweereza obutukiddwako kabonero akalaga nti nnyaffe Buganda aliko weyeyongedde mu nkulaakulana.
Katikkiro wamu n’ebenju ye babadde bakyaliddeko Kalidinaali Wamala mu makaage e Nsambya, okumwanjulira n’1okusabira ku baana Charles Bbaale Mayiga Junior ne Sonia Elizabeth Nnaabagereka abagenda okugattibwa mu bufumbo obutukuvu.
Kalidinaali abasabidde omukisa n’ekirabo ky’Amaka amatukuvu mu lugendo lw’obufumbo lweboolekedde.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nga awerekeddwako mukyaalawe Margret Mayiga n’Abaana,yeebazizza Omukama Katonda olw’Obulamu bwawadde Omutiibwa, ebibala byamutuusizzaako omuli n’okuweza emyaka 97 egyobukulu, ate nga akyaweereza katondawe mu ngeri ezenjawulo.
Bisakiddwa: Kato Denis