Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo ennyumba Buddukiro ebadde eyooyootebwa, ng’eno ye nnyumba entongole eya Pokino omwami w’essaza Buddu.
Enteekateeka y’okuyooyoota ennyumba eno ewemmense obukadde bwa shs obusobye mu 230.
Okumala emyaka egisoba mu 40 ennyumba eno ebadde mu mikono gya government, oluvannyuma lwa government eyaliko mu 1966 okuwera Obwakabaka, neyezza embuga, ettaka n’ebintu ebirala.
Pokino Jude Muleke aloopedde Katikkiro ng’omulimu gw’okuzzawo enyumba eno bwegutabadde mwangu nti nga gubaddemu amakuulikuuli mangi.
Abadde Sentebe w’olukiiko olubadde kugw’okuzimba ennyumba eno Elisha Muwonge ategezezza Katikkiro nti Bannabuddu babadde bumu mu kuzzawo ennyumba eno, omubadde okuwa amagezi n’okusonda ensimbi.
Katikkiro yebazizza bannaBuddu okubeera eky’okulabirako ekirungi, era naakaatiriza nti enkola ya Federo esobola bulungi okuvaamu ebibala eby’ensonga.
Katikkiro agambye nti FEDERO kitegeeza kunnyikiza buyinza, sso ssi kuggyako government eyawakati buyinza bwayo.
Minister wa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka bwa Buganda Owek. Yozefu Kawuki asabye Bannabuddu okufaayo okukuuma ebintu n’abantu bebalina, nabasaba n’okukuuma abakulembeze ne bannabyabufuzi bebazimbye.
Commissioner wa Parliament era omubaka wa Nyendo-Mukungwe Owek. Mathias Mpuuga Nsamba yebazizza Pokino eyawummula Owek. Vicent Ferrerio Mayiga Ssebbowa gwagambye nti ye yabanja ab’olukiiko lwa district ye Masaka okuva mu bizimbe bya government ye Mengo nebazza ennyumba eno.
Minister wa Microfinance Haji Haruna Kyeyune Kasol yebazizza Katikkiro olw’okufuba okulaba nga Buganda edda ku ntikko.#
Bisakiddwa: Tomusange Kayinja